Zechariah 13:2-4

2 a“Ku lunaku olwo, ndiggya amannya ga bakatonda abalala okuva mu nsi, galeme kuddayo kujjukirwa, era nzigye bannabbi n’omwoyo ogutali mulongoofu mu nsi,” bw’ayogera Mukama ow’Eggye. 3 bEra singa omuntu yenna awa obunnabbi, kitaawe ne nnyina abamuzaala bennyini balimugamba nti, “Oteekwa kufa kubanga oyogedde eby’obulimba mu linnya lya Mukama.” Bw’aliwa obunnabbi, bakadde be bennyini bamufumitanga.

4 c“Ku lunaku olwo buli nnabbi alikwatibwa ensonyi olw’okwolesebwa kwe okw’obulimba; era tebalyambala kyambalo kyabwe eky’ebyoya okulimba abantu.
Copyright information for LugEEEE